September 5, 2011
BY’OLINA OKUKOLA OKUYITA MU KATUUBAGIRO K’EBYENFUNA
Ensi Kuyiiya ne Michael Mukasa Ssebbowa
ENNAKU zino biizinensi nnyingi zinyigiriziddwa akanyigo k’ebyenfuna akali mu ggwanga lino n’ebweru waalyo era nga ezinaabulamu okutetenkanya zisuliridde okugwa.
Kyokka omukugu mu kuddukanya biizinensi entonotono, Janet Attard, agamba nti osobolera ddala okulwanagana n’embeera eno, biizinensi yo n’osobola okugifunamu amagoba n’okusinga g’obadde ofuna singa okola bino wammanga.
BY’OLINA OKUKOLA OKUYITA MU KATUUBAGIRO K’EBYENFUNA
Ensi Kuyiiya ne Michael Mukasa Ssebbowa
ENNAKU zino biizinensi nnyingi zinyigiriziddwa akanyigo k’ebyenfuna akali mu ggwanga lino n’ebweru waalyo era nga ezinaabulamu okutetenkanya zisuliridde okugwa.
Kyokka omukugu mu kuddukanya biizinensi entonotono, Janet Attard, agamba nti osobolera ddala okulwanagana n’embeera eno, biizinensi yo n’osobola okugifunamu amagoba n’okusinga g’obadde ofuna singa okola bino wammanga.
- Weekenneenye engeri gy’oddukanyaamu biizinensi yo.
- Tuukirira bakasitoma abaakuddukako
- Tuukirira abavuganya ne bakasitoma boolina kati n’abakadde
- Tuukirira abantu bewagezaako okufunako biizinensi emabegako
- Gatta oba yongera ku by’owa bakasitoma
- Weetegereze lisiti ya buli muntu gw’olinako akakwate
- Weetabe mu bintu ebigatta abantu mu kitundu
- Kozesa ku ssimu okutunda n’okutegeeza by’otunda
- Weegatte ne banno bwe mutunda ebimu
- Temayo empenda endala eziyingiza ssente.
Ekisooka sooka otuule weetegere biizinensiyo mu bwesimbu oyinza okuba ng’olina by’obadde oyisaako amaaso ebyetaaga okukyusa era nga bw’onokikola ojja kulabawo enjawulo.
Ekyokubiri tobaamu nsonyi tuukirira mangu baakasitooma abaakuddukako, bateekwa okuba nga balina ensonga bwe banaazikutegeeza n’ozitegeera bajja kudda ate kikuyambe ne ku ngeri gy’oyinza okukwatamu abalala.
Ekyo ng’okimaze tuukirira abantu abavuganya ne bakasitooma bolina kati n’abo abaakuvaako, emirundi mingi ojja kwesanga nga nabo beetaaga ekyamaguzi kyo. Abantu bootuukiridde bwe baba tebeetaaga ky’otunda basabe bakulagirire abayinza okukyetaaga.
Ddamu otuukirire abantu oba bakasitooma bewatuukirirako edda kyokka ne batakuwa biizinensi. Tomanya oyinza okusanga nga ku mulundi guno bali mu bwetaavu, oba ng’eyali abawa yafuna ebizibu, oba nga Maneja eyali awadde mukwano gwe yavaawo, oba nga ne kkampuni yakyusa mu nkola yaayo.
Yongera ku by’owa bakasitooma. Okugeza bw’oba wa bbaala, yongerako okusiimuula ku mmotoka za bakasitooma. Ow’edduuka eddene gaba entambula, ow’abaana gaba ku switi oba baaluuni. Ow’enviiri gaba ku kawoowo.
Dddamu weetegereze olukalala lw’abantu b’olinako akakwate oba bozze okolagana nabo era buli muntu olabe oba alina ky’ayinza okugatta ku biizinensi mu kaseera kano era gy’onoomalira ng’olina ky’ofunyemu.
Weetabe mu bintu ebigatta abantu abangi omuli ne bulungibwansi, lotale, wenyigire mu bibiina by’enzikiriza otwale n’obuvunaanyizibwa era nga bino obikola bw’otunda biizinensi yo.
Yiga okukozesa ssimu okutunda biizinensi nga muno mulimu okuweereza obubaka obuwandiike n’okuweereza seente nga ku Mobile Money, nga kuno kw’ogatta n’omukutu gwa Internet.
Weegatte ne banno bwe muli mu mulimu ogumu singa baba basobola okukuyamba okwongera okugaziya biizinensi yo. Olina okumanya nti olumu okuvuganya na buli muntu kiyinza okukufiiriza. Jjukira nti olumu omuntu ayinza okuba ne bakasitoma baatasobola kumatiza olw’ensonga ez’enjawulo omuli entambula n’abakozi.
Teekawo amakubo amalala agaleeta ssente. Okugeza bw’oba ng’obadde okanika mmotoka gattako okutunda Oil, giriisi n’ebintu ebirala ebikozesebwa ku mmotoka. Kuno oyinza n’okugattako okutunda sipeeya ate n’oyongerako okwoza n’okuwunda emmotoka ng’oziteekako malidaadi.
Ku nsonga zino 10 singa osobola okussa mu nkola waakiri nnya zokka ojja kulabawo enjawulo mu kiseera ekitali kya wala.
ENGERO Z’ABAGAGGA: Akateeyanira, kafa omutego.
No comments:
Post a Comment