Thursday, May 16, 2013

ANAAGAGGAWALA ATEEKWA OKUBAAKO GWE YEEGOMBA



LWAKI KIKULU NNYO OKUFUNA OMUGAGGA ANAAKUYAMBA OKUGAGGAWALA.

Ensi Kuyiiya ne Michael Mukasa Ssebowa

WIIKI ewedde twagambye nti omuntu asaana afuneyo omuntu oba abantu be yeegomba abasobola okumutuusa ku kugaggawala.
            Kino nakinnyonnyodde nga nkyesigamya ku nsonga nti tulina omukisa nti ebintu byonna ebyetaagisa omuntu okugaggawala eriyo abantu abazze babikola, guno ne ngutwala ng’omukisa kubanga ffe abaagala okufuuka abagagga kye tuba tulina okukola kwe kukoppa abo bye bazze bakola, tubisse mu nkola tulyoke tutuuke ku bye baatuukako ate tusinge nawo.
            Ensonga zino njagadde nnyongere okuzinogaanya oba kiyite okuzinnyikiza kubanga nkulu ddala eri oyo ayagala okuyitimuka, kubanga nkizudde nti ataazitegeere kijja kumubeerera kizibu nnyo okugenda mu maaso.
            Gye buvuddeko nnakunyumiza mukwano gwange eyali omugezi nga yaatukulembera buli taamu, kyokka nga gye yali ava okusoma bakutya nnyo era naye yakuvaamu mangu. Ndowooza nti singa yali yeekutte ku bantu abaali bamanyi obukulu bw’okusoma era  abasomye, osanga singa kati y’omu ku baakakensa betulina mu ggwanga lino, kubanga tulabye bangi abaali batalina fiizi, kyokka olwokuba beekwata abantu okugeza nga Bannaddiini, baaweererwa era ne basomera ddala.
            Kakensa mu kuwandiika ebitabo ayitibwa Oliver Goldsmith, olumu yagamba nti emirundi mitono nnyo omuntu gy’asobodde okwekulaakulanya nga talina muntu mulala gwe yeegomba okuggyako ye kennyini.
Katufuneyo ensonga ttaano zokka lwaki weetaaga omuntu oba abantu be weegomba:
1.     Bw’otunuulira era n’owuliriza omuntu ayitimuse mu nsi kikwanguyira okutegeera nti ebintu bisoboka era naawe osobola okukyusa obulamu bwo.
2.     Abantu bano abamu ojja kukizuula nti ebizibu bye bayiseemu bifaanana n’ebyo ebikufuukidde omuziziko olwo olyoke weeyambise enkola yaabwe okubivvuunuka.
3.     Ojja kukoppa enneeyisa  ye, okugeza obumalirivu, okwewaayo n’okulemera ku nsonga, ebintu naawe ebiteekwa obuteekwa okukutwala mu maaso.
4.     Ojja kuyiga enkolaye . Okugeza ng’okukeera okuzuukuka. Bw’onaatandikawo enkola eringa ey’omuntu gwe weegomba, naawe ojja kusobola okuyitimu mu bintu ebyo by’ayitimuseemu.
5.     Bw’onoofuna omuntu gwe weegomba, ajja kutuuka ekiseera afuuke ng’omutendesi wo. Kino kitegeeza nti buli lw’anajja n’ekintu ekipya, olwokuba ozze omugoberera era naawe ojja kukiyiga era oluvannyuma oteekwa okukifunamu.

Bwe tumala okutegeera omugaso gw’abantu bano, ekiddako kiri nti:

            Bantu ki abasaanidde okubeera ekirabirwako kyo?
Ekibuuzo kino kikulu era njagala kukiddamu bwenti:
a.      Noonya omuntu oba abantu abatuukirizza ebyo gwe by’oluubirira mu nsi.
b.     Funa omuntu alina ebyafaayo by’ebizibu ebyagala okufaanana n’ebibyo.
c.      Funa omuntu alina olugero lw’okugaggawala olukunyumira era nga buli lw’oluwulira ofuna ebbugumu n’ekinnyegennyege.
d.     Funa omuntu nga buli lw’ayogera owulira ng’ayogerera ddala ebintu by’owulira nga bye bijja okukutwala mu maaso.
e.      Bw’oba olina obunafu, okugeza ng’okubeera n’empisa ennungi oba okutuukiriza obuvunaanyizibwa funayo omuntu atalina buzibu na nsonga zino era ojja kumuyigirako.
Jjukira nti obwedda nkozesa omuntu oba abantu kubanga oyinza okwesanga ng’omuntu omu tajja kusobola kukutuusa ku by’oluubirira, kyenva nkusaba ofune asukka kw’omu kubanga kizibu okuzuula omuntu atuukiridde mu byonna.
            Kyokka okusobola okufuna mu byonna ebyogeddwa waggulu oteekwa buteekwa okuba ng’osobola okuddamu ebibuuzo bino:
I.                 Kiki kyenjagala okubeera?
II.               Biki byenjagala okutuukako mu bulamu
III.             Eriyo omuntu gwenneegomba ayinza okuntuusa ku biruubirirwa byange?
Ebibuuzo ebyo bw’osobola okubiddamu era n’ossa mu nkola byetwogeddeko waggulu ojja kuba osenvudde mu lugendo lwo olw’okugaggawala.
            ENGERO Z’ABAGAGGA: Ndi mugezi, nga mubuulire.