LWAKI KIKULU NNYO OKUFUNA OMUGAGGA ANAAKUYAMBA OKUGAGGAWALA.
Ensi Kuyiiya ne Michael Mukasa Ssebowa
WIIKI ewedde twagambye nti omuntu asaana afuneyo omuntu oba abantu
be yeegomba abasobola okumutuusa ku kugaggawala.
Kino
nakinnyonnyodde nga nkyesigamya ku nsonga nti tulina omukisa nti ebintu byonna
ebyetaagisa omuntu okugaggawala eriyo abantu abazze babikola, guno ne ngutwala
ng’omukisa kubanga ffe abaagala okufuuka abagagga kye tuba tulina okukola kwe kukoppa
abo bye bazze bakola, tubisse mu nkola tulyoke tutuuke ku bye baatuukako ate
tusinge nawo.
Ensonga zino
njagadde nnyongere okuzinogaanya oba kiyite okuzinnyikiza kubanga nkulu ddala
eri oyo ayagala okuyitimuka, kubanga nkizudde nti ataazitegeere kijja
kumubeerera kizibu nnyo okugenda mu maaso.
Gye buvuddeko
nnakunyumiza mukwano gwange eyali omugezi nga yaatukulembera buli taamu, kyokka
nga gye yali ava okusoma bakutya nnyo era naye yakuvaamu mangu. Ndowooza nti
singa yali yeekutte ku bantu abaali bamanyi obukulu bw’okusoma era abasomye, osanga singa kati y’omu ku
baakakensa betulina mu ggwanga lino, kubanga tulabye bangi abaali batalina
fiizi, kyokka olwokuba beekwata abantu okugeza nga Bannaddiini, baaweererwa era
ne basomera ddala.
Kakensa mu kuwandiika
ebitabo ayitibwa Oliver Goldsmith, olumu yagamba nti emirundi mitono nnyo
omuntu gy’asobodde okwekulaakulanya nga talina muntu mulala gwe yeegomba
okuggyako ye kennyini.
Katufuneyo ensonga ttaano zokka lwaki weetaaga omuntu oba abantu be
weegomba:
1.
Bw’otunuulira era n’owuliriza omuntu ayitimuse mu nsi
kikwanguyira okutegeera nti ebintu bisoboka era naawe osobola okukyusa obulamu
bwo.
2.
Abantu bano abamu ojja kukizuula nti ebizibu bye
bayiseemu bifaanana n’ebyo ebikufuukidde omuziziko olwo olyoke weeyambise
enkola yaabwe okubivvuunuka.
3.
Ojja kukoppa enneeyisa ye, okugeza obumalirivu, okwewaayo n’okulemera
ku nsonga, ebintu naawe ebiteekwa obuteekwa okukutwala mu maaso.
4.
Ojja kuyiga enkolaye . Okugeza ng’okukeera okuzuukuka.
Bw’onaatandikawo enkola eringa ey’omuntu gwe weegomba, naawe ojja kusobola
okuyitimu mu bintu ebyo by’ayitimuseemu.
5.
Bw’onoofuna omuntu gwe weegomba, ajja kutuuka ekiseera
afuuke ng’omutendesi wo. Kino kitegeeza nti buli lw’anajja n’ekintu ekipya,
olwokuba ozze omugoberera era naawe ojja kukiyiga era oluvannyuma oteekwa
okukifunamu.
Bwe tumala okutegeera omugaso gw’abantu bano, ekiddako kiri nti:
Bantu
ki abasaanidde okubeera ekirabirwako kyo?
Ekibuuzo kino kikulu era njagala kukiddamu bwenti:
a. Noonya
omuntu oba abantu abatuukirizza ebyo gwe by’oluubirira mu nsi.
b. Funa
omuntu alina ebyafaayo by’ebizibu ebyagala okufaanana n’ebibyo.
c. Funa
omuntu alina olugero lw’okugaggawala olukunyumira era nga buli lw’oluwulira
ofuna ebbugumu n’ekinnyegennyege.
d. Funa
omuntu nga buli lw’ayogera owulira ng’ayogerera ddala ebintu by’owulira nga bye
bijja okukutwala mu maaso.
e. Bw’oba
olina obunafu, okugeza ng’okubeera n’empisa ennungi oba okutuukiriza
obuvunaanyizibwa funayo omuntu atalina buzibu na nsonga zino era ojja
kumuyigirako.
Jjukira nti obwedda nkozesa omuntu oba abantu kubanga oyinza
okwesanga ng’omuntu omu tajja kusobola kukutuusa ku by’oluubirira, kyenva
nkusaba ofune asukka kw’omu kubanga kizibu okuzuula omuntu atuukiridde mu
byonna.
Kyokka okusobola
okufuna mu byonna ebyogeddwa waggulu oteekwa buteekwa okuba ng’osobola okuddamu
ebibuuzo bino:
I.
Kiki kyenjagala okubeera?
II.
Biki byenjagala okutuukako mu bulamu
III.
Eriyo omuntu gwenneegomba ayinza okuntuusa ku
biruubirirwa byange?
Ebibuuzo ebyo bw’osobola okubiddamu era n’ossa mu nkola
byetwogeddeko waggulu ojja kuba osenvudde mu lugendo lwo olw’okugaggawala.
ENGERO Z’ABAGAGGA:
Ndi mugezi, nga mubuulire.